ABAKUGU mu kitongole kya NARO bakoze okunoonyereza ku kirime ky’amajaani ne bazuula omugaso mu nsigo zaago ze bongerako omutindo ne bakolamu woyiro gwe beesiiga n’eddagala eriyambako okujjanjaba endwadde ez’enjawulo.
Okunoonyereza kuno kukoleddwa ekitongole ky’ebyobulimi ekikola ku kunoonyereza ku majaani ekya NARO - Rwebitaba Zonal Agricultural Research Institute mu Fort Portal.
Vereriano Turyahebwa, omukugu mu kunoonyereza ku majaani mu kitongole kino agamba nti, “Twongedde okukola okunoonyereza ku majaani nga tugakozeemu ebintu ebiwera by’osobola okuganyulwamu singa ogalima.
Ate omubisi n’ebikoola by’amajaani biyambako obulamu bw’omuntu abinywedde ku ndwadde z’omusaayi n’omutima”.
Turyahebwa agamba nti, ensigo z’amajaani bazikolamu woyiro akola ku lususu, ng’akozesebwa ne mu kufumba. Era ebikoola bya majaani tukamulamu omubisi gwe banywerawo. Tukolamu Green tea ne Black Tea ayamba ku ndwadde mu musaayi n’omutima. Ebikoola tubikaza ne bisigala nga biramba oba okukolamu amajaani g’olufufuge. Era tukolamu sabbuuni n’ebirala.
Tukozesa byuma okufuna woyiro
Tukungula ensigo ne tuzikaza bulungi, tuggyako ekikuta eky’oku ngulu ekikaluba oluvannyuma ne tusikako nga tukozesa ebyuma okunyiga woyiro ono mu nsigo. Tumulongoosa nga tetunnamupakira mu ccupa.
Ebikoola bikalira mu kisiikirize
Ebikoola ebimu tukolamu omubisi nga byakanogebwa ne bikamulwamu amazzi agabirimu. Ebirala tubikaza mu kisiikirize okusobola okuvaamu amajaani amalungi. Bwe gakala nga tugateeka mu kyuma ekigakolamu olufufugge ne tupakira nga buli paketi ya 3,000/-.