Ekyabadde e Namugongo ng'ab'alamazi b'e Fortportal batuuka ku kiggwa ky'Abajulizi.

Jun 01, 2022

Bya Ponsiano NsimbiLyabadde ssanyu jjereere ng’abalamazi okuva e Fortportal batuuka ku kigwa ky’Abajulizi e Namugongo ku Lwokubiri. Bano baabadde bakulembeddwaamu Bishop Robert Muhiirwa, bandi ya poliisi ng'era baayaniriziddwa bwannamukulu w'ekigwo ky'e Namugongo, Rev. Fr. Vincent Lubega.

Fr. Lubega (ku ddyo) ne Bishop Robert Muhiirwa (wakati) nga bayingira Namugongo.

NewVision Reporter
Journalist @NewVision

Bya Ponsiano Nsimbi

Lyabadde ssanyu jjereere ng’abalamazi okuva e Fortportal batuuka ku kigwa ky’Abajulizi e Namugongo ku Lwokubiri. Bano baabadde bakulembeddwaamu Bishop Robert Muhiirwa nga baayaniriziddwa bwannamukulu w'ekigwo ky'e Namugongo Rev. Fr. Vincent Lubega.

Mmotoka ya Poliisi ng'ekulembeddemu abalamazi.

Mmotoka ya Poliisi ng'ekulembeddemu abalamazi.

Bandi ya Prison ng'eyingiza abalamazi e Namugongo.

Bandi ya Prison ng'eyingiza abalamazi e Namugongo.

Beegattiddwaako aba bandi y’amakomera eyabayingizza Namugongo mu Ssanyu n’abaserikale okuva mu bitongole eby’enjawulo okuyambako okukakkanya embeera n’abantu abeenoonyeza ebyabwe obutakola ffujjo.

Abantu nga batuuka e Namugongo.

Abantu nga batuuka e Namugongo.

Essanyu: Abantu nga batuuka e Namugongo n'entwala yaabwe.

Essanyu: Abantu nga batuuka e Namugongo n'entwala yaabwe.

Kyokka waliwo n’abaserikale ba poliisi abaalabiddwako nga baweebwa omukisa okuva ewa bwannamukulu w’e Namugongo Fr. Vicent Lubega omukisa. Kirabika baabadde basaba Mukama Katonda abalung’amye n’okubayamba okubanguyizaako bye bakola.

Fr. Lubega ng'asabira abaserikale.

Fr. Lubega ng'asabira abaserikale.

Fr. Lubega ng'asabira abaana.

Fr. Lubega ng'asabira abaana.

Wano tukulaze ebimu ku bifaananyi ebyabaddeyo ng’abalamazi b’e Fortportal nga bayingira Namugongo.

(Ebif. byonna bya Ponsiano Nsimbi).

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});