Bajjukidde emirimu gya Ssaabasumba Lwanga

May 17, 2021

NGA wasigadde enaku mbale  okutuuka ku lunaku lwa Bajulizi ba Uganda, abakatuliki ku kigo Yuda Tadeo e Wakiso bajjukidde emirimu omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga gye yakola

Bajjukidde emirimu gya Ssaabasumba Lwanga

Edith Namayanja
Journalist @New Vision

Mulimi egy'okukulaakulanya ekigwa e Namugongo nga bayita mu kumusabira mu kitambiro ekyabaddewo akawungenzi k'eggulo.

Rev. Fr. Joseph Mukasa Muwonge nga yakulira okutembeeza abajulizi mu nsi yonna, bw'abadde akulembeddemu  ayiseyise mu mbeera abajulizi gye bayitamu gy'agambye nti teyali nnyangu naddala nga baali babatira mukubabonya bwatyo nasabye abantu okutandiika okwetekeratekera olunnaku luno nga basinsiza mu maka gaabwe.

Rev. Fr. Joseph Muwonge ne mukadde Tibyangye nga batongoza olutambi.

Rev. Fr. Joseph Muwonge ne mukadde Tibyangye nga batongoza olutambi.

Ye Fr. Richard Nyombi nga yakulira ekibiina ky'abaminsani mu Uganda asinzidde wano n'alaga nga omugenzi Ssaabasumba bwe balekera ekkatala eddene ery'okulaba nga Bro. Amansi ne Mapeera bafuulibwa abajulizi kubanga be baaleta eddiini.

Fr Joseph ng'abuulira

Fr Joseph ng'abuulira

Abasosodooti abawerako okuva e Bukalango, e Nabulagala, e Namugongo n'awalala omukolo guno bagubaddeko kw'osa n'abalamazi okuva e Bushenyi ne Mbarara.

Wano batongozza n'olutambi olw'enjawulo olukwata ku bajulizi n'abantu ab'enjawulo abazze balamaga era Ssaabakristu we kigo kino, Lubowa Ssebina Javiiray atenderezza amaanyi ssaabasumba ge yateeka mu kutumbula ebifo ebitukuvu omuli Munyonyo ne Namugongo.Abamu ku bantu abaabaddeyo

Abamu ku bantu abaabaddeyo

 

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});