AKALULU akasooka ak’abawanguzi b’ettu lya Bukedde mu bijaguzo eby’emyaka 30, kakwatiddwa era abantu 10 ne bawangula ettu lya Chapa General Enterprise buli omu ate munnamukisa omu n’awangula solar ya Star Times.
Kakwatiddwa butereevu ku Bukedde TV1 mu pulogulaamu ya Ekyenkya nga kaakwatiddwa omukung’aanya w’Olupapula lwa Bukedde, Micheal Mukasa Ssebowa, akulira bakitunzi ba Vision group, Lorraine Tukahirwa n’akulira okutunda empapula z’amawulire mu Vision group, Bruce Byaruhanga.
Akalulu nga kakwatibwa Sirage Kizito (ku kkono), Lorraine Tukahirwa akulira bakitunzi ba Vision group, Bruce Byaruhanga akulira okutunda amawulire ga Vision Group n'omukung'aanya wa Bukedde Micheal Ssebowa.
Lawrence Ddamba, Daudi Mutebi, Emmanuel Nyirimanzi, Edward Ssemwanga, Aliyi Kiuyo, Stephen Sendi, Hajjati Lukia Jinja, Lasto Ssebunya, Fred Ssebunnya ne Gilbert Muhumuza be bawangudde ettu lya Chapa ate Joseline Ayaa ow’e Gayaza n’awangula solar ya Star Times.
Omukung’aanya Ssebowa annyonnyodde engeri y’okwetaba mu kalulu. Ategeezezza nti omusomi wa Bukedde okola kimu kukwata Lupapula lwa Bukedde, n’ajjuza akakonge akali ku muko ogw’okubiri bw’amala n’akawa atunda amawulire akaleete bw’atyo n’ayingira mu kalulu butereevu.
Ebirabo eby’okuwangula kuliko ppikippiki, ettu lya chapa, ettu lya Star Times omuli olubaati lwa solar olwa waati 50(50 watts) , ttivvi yinci 31 eriko dikooda n’ekisowaani kyakwo, ekyapa ky’ettaka okuva mu BClara.H property services Uganda Ltd, okumala ennaku bbiri ng’owumuddeko ku Masaka Cultural Center wooteeri ey’omulembe.