Oluvannyuma lw’ekibiina ekigatta bannannyini masomero ag’obwannanyini ki Proprietors of Private Educational Institutions’ Association in Uganda okulagira abasomesa n’abakola emirimu egy’enjawulo ku massomero okugenda e Kololo olwa leero okwegemesa obulwadde bwa COVID 19, leero abasomesa okuva mu masomero ag’enjawulo bakedde ku kisaawe e Kololo okugemebwa ssenyiga ono mumiima mawuggwe.