Abaliko obulemu e Kalangala babajunye

Jun 01, 2022

Bya Samuel NkubaAbantu abaliko obulemu omuli abatawulira, abatayogera, abatalaba n’obulemu obulala mu bitundu by’e Kalangala batandise kaweefube w’okulwanirira eddembe lyabwe eribadde lirinyiriddwa.Enteekateeka eno etuumiddwa "Make way" ekitegeeza ‘’Kola ekkubo’’ ng’ewoomeddwamu omutwe aba Philomera Foundation.

Joseph Kayiira ng'asomesa abantu abaliko obulemu ku ddembe lyabwe.

Nkuba Samuel
Journalist @New Vision

Bya Samuel Nkuba

Abantu abaliko obulemu omuli abatawulira, abatayogera, abatalaba n’obulemu obulala mu bitundu by’e Kalangala batandise kaweefube w’okulwanirira eddembe lyabwe eribadde lirinyiriddwa.

Enteekateeka eno etuumiddwa "Make way" ekitegeeza ‘’Kola ekkubo’’ ng’ewoomeddwamu omutwe aba Philomera Foundation. Abantu bano baategeezezza nti bangi ku baliko obulemu tebafiiriddwako naddala ku ddembe lyabwe ku kuzaala n’okwegatta.  

Abamu ku baabadde mu musomo nga bawuliriza.

Abamu ku baabadde mu musomo nga bawuliriza.

Joseph Kayiira akulira emirimu mu kibiina kino yategeezezza nti enteekateeka eno y’amyaka etaano ng’egendereddwamu okulaba ng’abalina obulemu basibwamu ekitiibwa.  

Kayiira yagambye nti bagenda kubasomesa eddembe lyabwe, okubayigiriza emirimu gy’omu mutwe n’okufuna obwenkanya naddala nga bakoseddwa mu ngeri ezitali zimu.

Charles Kateregga akulembera abaliko obulemu e Kalangala ategeezezza nga bwe basanze okusoomoozebwa okw’amaanyi omuli abasajja okukaka abakyala abaliko obulemu akaboozi, abaana obutatwalibwa ku masomero, entambula okubakaluubiriza n’obutaweebwa byetaago.

Uganda erina abantu abasukka mu bukadde busatu abaliko obulemu.

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});