Omugagga w'omu Kampala owa Kalungi Plaza era mmemba mu kibiiba ekigatta abagagga mu Kampala ekya Bagagga Kwagalana , Moses Kalungi Kirumira amanyiddwa nga Bill Gates ne mukyala we Jenipher Mujungu eyali omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Ntoroko balaze amaanyi n'essape ku nnyonyi ya Fly Emirates ne bakyamula abasaabaze bwe basinzidde ku nnyonyi mu bwengula ne bakolerako mutabani waabwe Kalungi Billgate akabaga k'amazalibwa ak'emyaka 3.
Wakati ng'ennyonyi eri mu bwengula bano bayimbidde mutabani waabwe obuyimba bw'amazalibwa nga beegatiddwako ababadde ku nnyonyi okubadde n'Abazungu nabo ne babeegatakko ne basala keeki ne mutabani waabwe ne bagabula abasaabaze.
A20ec9db 2fe5 4190 9cab 4588c9ce1aeb
7a59821a 366d 4860 B5fd 09122de444dc
0dc96b7a 1205 4590 Bad4 40990a82c614
7af95d9d 7d5a 431e Bd42 088887a5f8d5
189d87af Bc25 4bd9 B9d4 4af184892121