SSENTEBE w’akatale k’e Nateete, Bonny Kabugo, atenda BUKEDDE okuyimirira n’abasuubuzi n’okutaasa akatale kaabwe okutwalibwa bannakigwanyizi.
Nze Kabugo waabwe amaanyi nandigaggye wa agalwanirira abasuubuzi abasoba mu 700, okuva ku bannakigwanyizi abaali bamaliridde okutusengula bateekewo ppaaka ya bbaasi.
Wadde abasuubuzi tebandekerera naye olupapula lwa BUKEDDE lwaliwo nnyo okufulumya amawulire gonna agaali gagenda mu maaso mu katale okuva ku kwekalakaasa kwaffe nga tulaga obutali bumativu, enkiiko ze twetabamu n’abakungu ba gavumenti n’okulondoola ensonga zonna mu kkooti okutuusa lwe twafuna ku buweerero.
BUKEDDE olupapula nnali ndwagala naye okuva mu 2017, lwe lwatuyamba okuggusa ensonga y’okulwanirira akatale kaffe ku kkampuni ya RR Transporters eyali yeesomye okukatwala ng’egamba nti, yali ekoze endagaano n’eyali Ssentebe waffe mu biseera ebyo Hajji Rashid Kibirige, nneeyongera okulwagala n’okulwagazisa abalala naddala abasuubuzi b’e Nateete.
‘’Nga omukulembeze nakola buli kimu kye nsobola okulwanirira abasuubuzi kyokka olw’eddoboozi ly‘olupapula lwa BUKEDDE eryatuli emabega twayanguyirwa okutuusa obulumi bwaffe eri abakulu abakwatibwako okwali ne pulezidenti Museveni enteekateeka z’okweddiza akatale kaffe ne ziyimirizibwa,’’ Kabugo bwe yateegezezza.
Ng’oggyeeko okutulwanirira, olupapula lwa BUKEDDE buli lunaku lufulumya emboozi ezikwata ku muntu waabulijjo okuli n’abasuubuzi be nkulembera. Emiko egy’enjawulo egifulumira mu lupapula luno buli lunaku ng’ogwa YIIYA SSENTE ogwa buli Lwakusatu ogukwata obutereevu ku bantu baabulijjo n’ebyobusuubuzi.
Kabugo ng’omuntu, BUKEDDE annyambye okufunira abaana bange amasomero amalungi nga mpita mu kusoma ku bubonero bw’amasomero mu biseera by’ebigezo nga bikomyewo, okwejjanjaba nga nkozesa ebintu ebinneetoolodde olw’omuko gwa TAASA OBULAMU n’emboozi endala ennyuvu.