Bya Wilson W. Ssemmanda
Leero nga May, 13 2022 lwe giweze emyaka 40 bukya Paapa John Paul II (Omutuukirirvu) n'abantu abalala babiri baakubwa emasasi nga May 13 1981, mu kibangirizi kya St. Peter's Square mu kibuga Vatican.
Paapa yakubwa ebyasi 4 eby'emmundu ey'ekika kya baasitoola mu lubuto ne ku mikono gyombi bwe yali atuuka mu kibangirizi kino ng'ali mu kamotoka ke akaamutambuzanga n'abantu abalala babiri ne bakosebwa.
Mu kaseera ako ak'akazigizigi nga Paapa afukumukamu omusaayi omungi baamuddusa mu ddwaaliro lya the Gemelli Policlinico Hospital mu kibuga Roma.
Mu bunnambiro poliisi erwanyisa obutujju yakwata omutujju ono eyamanyibwa nga ye munna Butuluuki (Turkey) Mehmet Ali Ağca, 23 ow'akabinja ka ba 'The Grey Wolves'.
Oluvannyuma lw'ekiro kiramba nga poliisi ku kitebe kyayo ekikulu mu kibuga Roma ekunya Ağca yassibwako emisango okuli ogw'okugezaako okutta Paapa.
Mu mirala baamuvunaana egy'okugezaako okutta Ann Odre 58, (essasi gwe lyakwata mu kifuba) ne Rose Hall, 21 ow'e Jamaica (essasi gwe lyakwata mu kugulu).
Oluvannyuma Ağca yatwalibwa mu kkooti enkulu mu Roma era n'asingisibwa emisango gyonsatule n'asibwa amayisa (okubeera mu kkomera obulamu bwe bwonna).
PAAPA ASONYIWA OMUTEMU
Bwe waayita akaseera Paapa John Paul II yasalawo okusonyiwa Ağca olw'okugezaako okumutta.
Oluvannyuma lwa Paapa okuwandiikira eyali Pulezidenti wa Italy mu kiseera ekyo Carlo Azeglio Ciampi yajjeereza omusibe ono n'ayimbulwa era n'azzibwa okwaboobwe e Butuluuki mu June 2000. Kyokka ne mu Turkey yali aleseeyo emisango n'asibwa emyaka emirala 10 nga yatuuka okuteebwa ng' alina emyaka 52.
Mu 2014, Ağca yakyalako mu Yitale era n'ateeka ekimuli ku ntaana y'Omutuukirivu Paapa John Paul II eyafa mu April wa 2005.