Amawulire

Klezia etongozza ebikujjuko bya bavubuka eby'essaza

AKULIRA okulung'amya abayizi ku ttendekero lya Makerere Business School (MUBS) e Nakawa Msgr. Dr.Lawrence Ssemusu akubirizza abavubuka okukozesa obulungi emyaka gyabwe egy’obuvubuka nga bakola ebibasuubirwamu baleme okwejjusa. 

Klezia etongozza ebikujjuko bya bavubuka eby'essaza
By: Ponsiano Nsimbi, Journalists @New Vision

AKULIRA okulung'amya abayizi ku ttendekero lya Makerere Business School (MUBS) e Nakawa Msgr. Dr.Lawrence Ssemusu akubirizza abavubuka okukozesa obulungi emyaka gyabwe egy’obuvubuka nga bakola ebibasuubirwamu baleme okwejjusa. 

Bino yabyogeredde ku wooteeri ya Pope Paul mu Ndeeba bwe yabadde atongoza ebikujjuko by’okukuza olunaku lwa bavubuka olw’ensi yonna mu ssaza ekkulu erya Kampala ku mukolo ogwetabiddwako abakulembeze ba bavubuka okuva mu bigo eby’enjawulo. 

Dr. Ssemusu yategeezezza nti ssinga abavubuka balina okukola okusalawo mu bwangu n’okuteeka amaanyi  n’obumalirivu  mu bye bakola  okusobola okutuukiriza ebirooto byabwe. 

Oluvannyuma yakulembeddemu enteekateeka z’okusonda ssente ezigenda okuyambako mu kuteegeka olunaku luno nga November, 26,2023 ku ssomero lya Bishop Cyprian Kihangire Secondary School Luzira. 

Akulira ekitongole kya bavubuka mu ssaza ekkulu erya Kampala, Rev. Dr. Joseph Mary Ssebunnya yategeezezza nti  olunaku luno lwatandikibwawo Paapa John Paul II, n’ekigendererwa eky’okusembeza abavubuka mu Klezia, okuzimba n’okukuza ebitone byabwe n’okubakumaakuma. 

Yagambye nti olunaku luno lusuubirwa okwetabwako abavubuka abasoba mu 10,000/= okuva mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo era nga bano baakwenyigira mu bintu eby’enjawulo okuli okwolesa ebintu eby’enjawulo bye bakola,emizannyo egy’enjawulo n’ebirala. 

Akulira ekitongole kya bavubuka mu vikaliyeti y'e Kampala, Fr. Julius Kanyike yategeezezza nti ebikujjuko by’omwaka guno byakutambulira ku mulamwa gw'essaza ogugamba nti “Situka, kwata olunnyo lwo otambule’’ ng’okutegeka olunaku luno beetaaga obukadde 160. 

Yasabye abavubuka bonna mu ssaza okujjumbira enteekateeka zino n’okuziwagira. 

Tags:
Amawulire
Klezia