Abatuuze ba Kinoni B nga basinziira mu kanso y'ekyalo bennyini banaabira ssentebe waabwe Vincent Ndaula mu maaso nti takyali mukulembeze waabwe.
Wabula Ndaula yagaana okuwaayo sitampu era n'addukira mu kkooti e Kalungu n'aggulawo omusango gw'engassi ku mukama we David Ssegawa Balemeezi.
Ndaula eyali yaloopa.
Ku ffayiro y'emu yagattako ne muliraanwa we omusuubuzi George William Kakande nti batyoboola ekitiibwa kye ng'abakazi bamwogerako eby'ensumattu.
Omuwaabi Ndaula abadde awolerezebwa looya John Mugume ng'ate abawawaabirwa Ssegawa ne Kakande bawolerezebwa Sarah Nakasiita owa JNK Kateregga.
Abawawaabirwa nga bali ne munnamateeka waabwe Nakasiita.
Mu lutuula olwasooka, looya w'abawawaabirwa Nakasiita yakuba ebituli mu mpaaba ya Ndaula nti ensonga ze yasinziirako teziyimirizaawo musango ng'amalira kkooti biseera.
Wabula, Looya wa Ndaula, Mugume yakiwakanya n’agamba nti omuntu we Ndaula alina okuwulirizibwa afune obwenkanya kuba y'atyoboolwa ng'ate muntu mukulu era omukulembeze alina ne ffamire.
Abamu ku batuuze abaabaddeyo mu kkooti.
Omulamuzi Namudiba asoose okutaganjula amateeka n'ebyokulabirako by'emisango emirala egy'oluse olumu n'ogwa Ndaula ng'abali mu kkooti bamwegese amaaso.
Akubidde ng'akkiriziganya ne looya w'abawawaabirwa Nakasiita nti ddala kituufu Ssentebe Ndaula ensonga ze yeesigamako ng'aggulawo omusango zaabulamu omuzinzi.
Omulamuzi Namudiba akitadde ku looya Mugume nti teyalung'amya muntu we ku butya bw'aggulawo musango n'atabikiriza emisango egitafaanagana ku ffayiro emu.
Omulamuzi Sandra Namudiba.
Wano w'asinzidde okwejjeereza abawawaabirwa Ssentebe Ssegawa n'omusuubuzi Kakande nti tebalina musango gwa kwewozaako beddireyo ewaka.
Omulamuzi Namudiba alagidde looya Mugume okuliyirira balooya b'abawawaabirwa ensaasaanya yonna gye batadde mu musango guno kuba y'ataawabula Ndaula.
Abawagizi b'abawawaabirwa bafulumye bakuba obululu n'okusaakaanyiza waggulu kyokka nga Ndaula n'ababe beebwalabwala.
Ssentebe Ssegawa ne Kakande banyiigidde Ndaula okubamalira ebiseera ne ssente mu nsonga z'atalinaamu mazima.
Abatuuze nga bayozaayoza Kakande.
Ssegawa akitadde ku bantu abalemererwa okukolera abalonzi nti beerimbika mu busongasonga nti bamuggye ku mulamwa gw'okulwanirira abalonzi be.
Aweze nti tajja kussa mukono ka okutuusa nga n'abalala Ndaula be yagguddeko emisango abafunidde eddoboozi ly'okwerwanako.
Wabula Ndaula ayogedde ky'azaako n'awera `nga bw'atajja kuweera okutuusa ng'ayimirizaawo emisango gye ng'akolagana ne looya we. Abawagizi be nabo boogedde ku ngeri omuntu waabwe bw'atulugunyiziddwamu ne banyiigira kkooti emugobezza omusango.