NG'ENKUBA etandikiriza okutonnya mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu n'okwonoona amakubo gaayo n'abatuuze be Kalungu balaajanidde abakulembeze okubakolera amakubo gaabwe nedda agayita mu migga.
Bategeezezza nti beralikitidde rmigga gino okuddamu okubooga ne gibakutula n'okugotaanya eby'ensoma y'abayizi nga bwe gwali omwaka oguwedde.
Abasinze okulaajana be bakozesa oluguudo oluva e Lukerere okudda e Kanyogoga- Kabungo n'okudda e Lukaya.

Kalungu 2
Omugga oguberaliikirizza gwe gwa Kawanga ogwegattibwako ogwa Kinyikka ogugattako ekyalo ky'e Kabuye n'ebirala.
Mu kiseera amakubo gano gajjuddemu empompogoma so ng'awamu ebigoma bibbomose ne mwe bassa enkoma mweraliikiriza.
Abatuuze abakuliddwa Ssentebe Margaret Nanyunja ne Muhsmad Nasser Walukagga basose ku bunkenke bwe batubiddemu.
Bamaama balaajanye ng'amakubo bwe gabalemesa okweyuna amalwaliiro ng'abaana baabwe bakubiddwa ennyimbe.
Ate abaami bagambye nti okwenkuba kibatuusa okuweeka bakyala baabwe ng'embuto z'okuzaala zibasimbye.
Ssentebe Nanyunja n'abatuuze be beekokkola okwetaba mu by'okulonda olw'okwerabirwanga mu by'enkulaakulana.
Nanyunja agamba nti alina abatuuze abasoba mu 400 ng'abalonzi aweza 280 nti batudde mu kazinga k'obutaba na nkuulaakulana.
Abatuuze balaajanye nti amasomero n'amalwaliiro gabeesudde nga n'amasanyalaze tegabatuukanga.
Ku ky'amazzi amayonjo,balaze nnayikondo emu yokka eyali ebaweereddwa ng'olwafa n'ebyuma ababitwalanga tebabizzanga.
Ssentebe Nanyunja n'abatuuze be balaajanye nti amazzi bannywa ga biddiba n'agemikutu mu migga.

Kalungu 7
Wano we basabidde abakulembeze n'abazirakisa nga Puliida Ismael Ssemakula babajune ku nguudo n'amazzi ng'obudde tebunna ku bunaabwo.
Bagambye nti mu kiseera kino omusana gubookozza nnyo ne gubakaliza ebirime ng'emmwanyi naye batidde enkuba okutonnya n'ejjuza emigga ne basalibwako.
Awatali kwesalamu,bakkiriziganyizza ne Ssentebe waabwe Nanyunja nti betegefu okusala ku bibanja byabwe mu kugaziya amakubo.
Kino bagamba nti bakikola kuba obutaba na makubo kibazing'amizza mu nkuulaakulana kuba teri mmotoka etuuka ku kyalo kyabwe wadde esomba smatofaali