OLUNAKU lwa November 27, 2015 terugenda kwerabirwa mu byafaayo bya Uganda olw’omugenyi nnaatalabikalabika ng’amasavu g’engabi eyakyala mu Uganda!
Omugenyi ono si mulala ye musika wa Yezu Kristo era omusika wa Peetero, Omutukuvu Paapa rancis eyaweesa Uganda ekitiibwa bwe yatonnya ku kisaawe e Ntebe ku bugenyi obw’ennaku ebbiri Bannayuganda bangi bwe bakyanyumyako emyaka kati
kkumi bukya ajja kuno.
Olugendo lwa Paapa Francis mu Uganda lwasabibwa omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga mu 2013, bwe yagenda e Roma okusisinkana Paapa. Lwanga yasaba Paapa okujja abeerewo ku bikujjuko eby’okujaguza emyaka 50 bukyanga Abajulizi
ba Uganda balangirirwa mu lubu
lw’abatuukirivu.
Bapaapa abaasooka okukyala mu Uganda kuliko Paapa Paul VI yajja mu July wa 1969, ne Paapa John Paul II mu 1993.
Paapa Francis bwe yatonnya ku kisaawe e Ntebe, yayanirizibwa Pulezidenti Museveni,
Minisita w’ebyenjigiriza era muka Pulezidenti Janet Kataha Museveni, eyali omubaka wa Paapa mu Uganda, Michael Augustine Blume, n’Abasumba ba Uganda wakati
mu mazina, n’enduulu okuva mu Bakristu abaali bamulindiridde.
Bwe yava e Ntebe ku kisaawe, yagenda mu kafubo ne Pulezidenti Museveni ne Pulezidenti wa South Sudan Salva Kiir Mayardit mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe.
Bwe yava e Ntebe, yayolekera e Munyonyo ku kiggwa ky’Abajulizi ye yasisinkanira abasomesa ba katikisimu n’abasomesa abalala, n’akkaatiriza obukulu bwabwe mum kusaasaanya eddiini n’okukkiriza m mu bantu.
Enkeera nga November 28, Paapa yayimba Mmisa ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo, ng’ajjukira abajulizi ba Uganda.
Mu kuyigiriza kwe yasaba Bannayuganda okuyigira ku bajulizi nga bayita mu kufaayo eri abanyigirizibwa.
Era yakyalako ne ku kiggwa ky’Abakristaayo e Namugongo. Francis era yasisinkana abavubuka abaali bakunukkiriza mu mitwalo 15 ku kisaawe e Kololo, Paapa gye yasinziira okubakubiriza okwewala obuli bw’enguzi bwe yagamba nti “Buwoomerera nga ssukaali naye bwa bulabe eri abavubuka”.
Paapa era yasisinkana Bannaddiini, Baffaaza, n’Abaseminariyo mu lutikko e Lubaga, n’abasaba okusigala nga beesigwa eri okuyitibwa kwabwe n’okussa essira ku kuyigiriza
abantu obukulu bw’obufumbo n’enkuza y’abaana ennungi mu njigiriza zaabwe.
Eno gye yasisinkanira Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II. Obwakabakabwa bwa Buganda bwe baayita Abaminsani okujja mu Uganda era
bwe bwawa Klezia ettaka okwasooka okuzimbibwa Klezia.
Yagendako ne mu maka ga Bakateeyamba e Nalukolongo n’asabira n’okulambula ku bantu abaliyo, gye yasinziira okusaba Bannayuganda okubeera ab’ekisa eri abantu abasosolwa ennyo olw’embeera y’obulamu bwabwe.
Ku nguudo kwe yayitanga ng’agenda mu bifo eby’enjawulo, abantu babeeranga bamulindiridde ku makubo wakati mu kumukubira enduulu n’emizira ate nga ddala basanyufu. Kino Paapa yakyogerako n’agamba nti kyamwewuunyisa okulaba abantu b’amanyi nti obwavu bumuluma okumwaniriza n’essanyu eringi bwe lityo. Nga November 29, Paapa Francis yasiibula okuva mu Uganda n’ayolekera Central African Republic.