Amawulire

Abazigu abaawambye omwana w'omusawo e Jinja basabye obukadde 100 okumukomyawo!

Poliisi mu Ssezzibwa, ekyagenda mu maaso n'okuyigga omwana,  Kaira Nankya Mbuga 6, eyawambiddwa ab'emmundu okuva mu Naminya cell, Kiira ward e Njeru mu Buikwe ku wiikendi.

Abazigu abaawambye omwana w'omusawo e Jinja basabye obukadde 100 okumukomyawo!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi mu Ssezzibwa, ekyagenda mu maaso n'okuyigga omwana,  Kaira Nankya Mbuga 6, eyawambiddwa ab'emmundu okuva mu Naminya cell, Kiira ward e Njeru mu Buikwe ku wiikendi.

Abazigu ab'emmundu nga beekapise obukookoolo, baayingiridde amaka ga Dr. Moses Mbuga Ndiwalana 37, ne banyaga ssente ne bawamba n'omwana ono oluvannyuma lw'okubassa ku mudumu gw'emmundu.

Kitegeezeddwa nti abaamuwambye, basaba obukadde 100 okumubaddiza. Dr. Mbuga kigambibwa nti akolera ku St. James Orthopedic Hospital ku Circular road mu kibuga Jinja era yabadde yaakatuuka awaka, abazigu we baatuukiddewo.

Tags:
Bazigu
Bukadde 100
Mwana
Musawo
Jinja
Kuwamba