ABAKULEMBEZE b’amawanga n’Abalangira mu mawanga ag’enjawulo bajeemedde ekiraamo kya Paapa Benedict XVI obutaziikibwa mu bitiibwa.
Ekitebe kya Klezia mu nsi yonna e Vatican kyayisa enteekateeka nga Paapa oyo eyalekulira mu 2013 nti, okusobola okutuukiriza ekiraamo kye okuziikibwa mu kimpowooze, abanene bokka abagenda okwetaba mu kuziika kwe bagenda kuva Yitale awali Vatican ne Germany gye bazaala Paapa oyo.
We bwazibidde eggulo ng’abanene abagaanye eby’obutabeera ku mukolo ogwo nem bakakasa bwe bagenda okugwetabako mu buli ngeri olw’omukwano gwe baalina ne
Paapa oyo n’enkolagana y’amawanga gaabwe ne Vatican kuliko’ Kkwiini Sofia owa Spain ne Kabaka Philippe owa Belgium. Okusinziira ku mawulire ga Daily Mail, bagenda kwetaba ku kuziika Paapa ono ku Lwokuna mu mbeera yonna.
Benedict XVI eyafiiridde ku myaka 95, agenda kuziikibwa Lwakuna mu Klezia ya St. Peter’s Basilica nga ye Klezia esinga obunene mu nsi yonna.
Etuuza abantu 60,000. Mmisa egenda kubeera mu kibangirizi ekiri ebweru waayo ekiyitibwa St. Peter’s Square nga kino kituuza abantu 150,000 era egenda kukulemberwa Paapa Francis eyamuddira mu bigere.
Entaana ya Benedict yategekeddwa okuliraana entaana ya Petero Omutume eri mu Klezia y’emu wansi wa wolutaali.
Ekifo w’agenda okuziikibwa era kiriraanye ekifo Paapa John Paul II gwe yaddira mu bigere mu 2005 we yasooka okuziikibwa omwaka ogwo.
Paapa John Paul II yakyusibwa n’aziikibwa awalala mu Klezia y’emu bwe yatuuka ku ssa ly’Obutuukirivu mu 2013 nga Paapa Benedict ono agenda okuziikibwa ye yamulangirira oluvannyuma lw’abantu okuwa obujulizi ku by’amagero bye yabakolera.