ABAKKIRIZA naddala Abakristu abali mu kiseera eky’ekisiibo bakubiriziddwa okunyweeza ennyo empagi esatu ezitambulizibwaako ekisiibo olwo ne Katonda ayime okwo abakwatirwe ekisa abasonyiwe ebibi byabwe.
Empagi zino esatu kuliko okusiiba, okwegayirira ate n’okukola ebikolwa eby’ekisa ng’omukristu anaakola bino n’abituukiriza ne Katonda taleme kwanukula ssaala ze.
Bino byogeddwa Rev. Fr. Lazarus Kiggundu Bwanamulu w’ekigo kye Kyengeza mu ssaza lya Kiyinda- Mityana bw’etegezeeza nti Klezia Omukristu kimukakatako okusiiba, okwegayirira Katonda olw’ebibi bye ate n’ebyabalala wamu n’okukola ebikolwa eby’ekisa naddala okugabira abali mu bwetaavu.
Ft. Kiggundu agambye nti tulowooze nnyo ku bigambo Paapa John Paul II byeyagamba nti ku nsi tekuli muntu mwavu nnyo atalina wadde ky’asobola kugaba, ate era tewali muntu mugagga nnyo atalina ky’asobola kuweebwa.
N’olwekyo ggwe alowooza nti oli mwavu, wekebere olabe ky’olina ng’osola okukigaba era okigabire oyo atalina mu kisiibo kino olwo ne Katonda awulirize essaala zo akuwe byewetaaga.