ABASAJJA basatu abagambibwa okufumbikiriza ow'emyaka 20 n'ekigendererwa eky'okwagala okumusobyako ekirindi, bakwatiddwa poliisi e Matugga.
James Obongo, Nathan Emagu, Collines Oterero , be bakuumirwa ku poliisi e Matugga, era nga waliwo n'abalala, aabakwatiddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa mu kitundu ekyo. Kigambibwa nti babakutte n'ebiso.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti, baasobodde okukwata abantu abasoba mu 100 mu wiiki wedde era ne bazuuliramu n'enjaga ey'ebika eby'enjawulo.
Agambye nti ebikwekweto bino, bigenda mu maaso , okufuuza abo bonna abakyamu.