Amawulire

Aba NIRA balabudde bannayuganda ku bafere

ABEKITONGOLE kya NIRA , balabudde Bannayuganda nga bwe waliwo abafere abeeyambisa emitimbagano n'ekigendererwa eky'okufera n'okubba abantu.

Aba NIRA balabudde bannayuganda ku bafere
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

AB'EKITONGOLE kya NIRA balabudde Bannayuganda nga bwe waliwo abafere abeeyambisa emitimbagano n'ekigendererwa eky'okufera n'okubba abantu.

Mu kiseera, kino, bakolagana n'ekitongole kya UCC ne poliisi, okuyigga abali amebaga w'emikutu gino kwe bassa obubaka bwa NIRA , mwe babbidde abantu ssente eziwerako.

Emikutu gino okuli ogwa NIRA ID PRODUCER , UG FINDER n'emirala, kigambibwa nti , balimbirako abantu nga bwe bagaba kaadi ezamangu ne bassaako n'ennamba y'essimu kwe balina okusindika ssente shs 300,00/, basobole okufuna endagamuntu zaabwe mu bwangu.

Registrar akulira eby'endagamuntu mu kitongole kino,  Clarie  Ollama, alabudde Bannayuganda okweyambisa omukutu omutuufu , okwewala okubbibwa.

Tags: