Enkozesa y'akaweta akatangira abakazi okufuna siriimu

Apr 09, 2021

EKITONGOLE ky’ebyobulamu eky’ensi yonna kyakkiriza akaweta akassibwa mu bukyala (Dapivirine Vaginal Ring) okuba emu ku nkola empya abakyala gye bayinza okukozesa okuziyiza okukwatibwa akawuka ka siriimu.         

Enkozesa y'akaweta akatangira abakazi okufuna siriimu

Ruth Nazziwa
Journalist @New Vision

Akaweta kano kateekebwa mu bukyala okumala ennaku 28, bwe ziggwaako okaggyayo n’oteekayo akapya.  

Dr. Brenda Gati Mirembe omukugu mu kunoonyereza ku biziyiza siriimu mu bakyala okuva ddwaaliro lya “The Makerere University- John Hopkins University Research Collaboration” (MU-JU) agamba nti “Twanoonyereza ku kaweta akassibwa mu bukyala buli mwezi okwetangira okufuna akawuka ka siriimu. 

Okunoonyereza kuno kwakolebwa mu ku MU-JU ne Masaka ate ne mu nsi endala mu Afirika ne kizuulibwa ng’akaweta kano kasobola okukuuma omukazi ebitundu 67 ku buli 100 n’atafuna siriimu bw’aba akakozesezza bulungi. 

Dr Carol Akello ng'annyonnyola

Dr Carol Akello ng'annyonnyola

Bwe kyazuulibwa ng’abawala abato tebakakozesa bulungi okunoonyereza kwayongera okukolebwa mu bawala okuzuula ekibalemesa okukakozesa obulungi era okunoonyereza kuno kukyagenda mu maaso. 

Oluvannyuma waliwo okunoonyereza okulala okwakolebwa MTN 025 ne Dream study okuwa abakyala omukisa ogw’okukozesa akaweta kano era ebyavaamu biraga nti abakyala baagala akaweta kano era bangi baagala okukeekuumisa obutafuna HIV. 

Okunoonyereza kugenda mu maaso mu bakyala abayonsa n’abali embuto nga kuyitibwa MTN 043 nga tunoonyereza ku kaweta kano mu bakyala abayonsa n’abembuto nga tugeraageranya n’eddagala eritangira siriimu erimiribwa buli lunaku erya “Truvada” kitusobozese okwongera okutegeera enkozesa y’akaweta kano mu bakyala abayonsa n’abembuto. 

Dr. Carol Akello anoonyereza ku bintu ebiziyiza siriimu mu bakyala mu ddwaaliro lya  MU-JU yategeezezza nti akaweta kano kaasembwa ekitongole ky’ebyobulamu eky’Ensi yonna ekya World Health Organisation n’emitendera egirambika engeri  gye kalina okukozesebwa ne gifulumizibwa. 

Akaweta kano kalimu eddagala erya ARV lye bayita Dapivirine eriyamba okuziyiza omukyala okufuna akawuka ka siriimu ssinga abeera yeegasse n’omusajja amulina. 

Enkozesa y’akaweta; Dr. Gati annyonnyola nti omukyala asooka kunaaba bulungi mu ngalo . Akakyusa ne kakola ennukuta ya “8” n’oluvannyuma n’akasonseka mu bukyala. Akaweta kano bwe katuuka mu bukyala keeyanjuluza ne kakola enkulungo nga bwe kaabadde. 

Katuuka waggulu mu bukyala naye tekasobola kweyongerayo munda. Akaweta kano bwe kayingira mu bukyala kafulumya eddagala lya ARV erya “Dapivirine” ne libuna obukyala bwonna. 

Mu kiseera ky’okwegatta ssinga omukyala abeera n’omwami alina obulwadde lisobola okuziyiza omukyala n’atabufuna. Akaweta tokaggyaayo okumala ennaku 28. 

Oluvannyuma lw’ekiseera ekyo, olina okunaaba mu ngalo, n’okaggyayo ng’okozesa olugalo lumu n’oteekayo akaweta akalala nga omusawo bw’aba akulagiridde. 

Enkizo y’enkola eno; Emigaso egiri mu nkola eno giri nti okateeka mu kitundu ky’okwegatta ekitegeeza nti eddagala erisinga likoma mu bukyala mwokka era omukyala tafuna buzibu bwonna buva ku kaweta kano. 

Omukyala teyeetaaga kujjukira buli lunaku nti alina okubaako ky’akozesa okwetangira nga bwe gubeera ku mpeke z’omira buli lunaku kubanga omala omwezi mulamba nga tonnakakyusa. 

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});