Aba NUP baanukudde ekyokwegatta ku IPOD.

Sep 15, 2021

ABEEKIBIINA kya National Unity Platform bategeezezza nga bwe batannafuna nsonga nnambulukufu lwaki beegatta ku mukago ogutaba ebibiina by’ebyobufuzi mu palamenti ogwa IPOD era ne bateegeza nga ebigendererwa byagwo bwe bikonya ebyobufuzi.

Aba NUP baanukudde ekyokwegatta ku IPOD.

Edith Namayanja
Journalist @Bukedde

Gye buvuddeko omukago guno gwaweereza okusaba eri ebibiina ebipya ebirina ababaka mu palamenti okugwegattako wabula aba NUP mu kwanukula bano mu kiwandiiko kye bayisa ku mitimbagano bategeeza nga bwe batali beetegefu kubeegattako mu kaseera kano lwa nsonga nti  ebbanga omukago guno lye gumaze tewali na kimu ku bigendererwa byabwe byatuukiddwako.

Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Mathias Mpuuga

Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Mathias Mpuuga

Leero, akulira oludda oluvuganya mu palamenti Mathias Mpuuga ategeezezza bannamawulire ku palamenti  nti ssinga omusingi okwazimbibwa omukago guno guteekebwa mu nkola,  bajja gyegattako kubanga bo balaba nga bingi ebikyabalemye gamba nga okutyoboola eddembe ly'obuntu.

 Mpuuga era ayagala minisitule y’ebyenjigiriza ekyuse ekirowoozo eky’okuggulawo amasomero nga bataddewo obukwakkulizo wabula gaggulwe ku mitendera gyonna.

Mpuuga n'ababaka nga basala kkeeki

Mpuuga n'ababaka nga basala kkeeki

Gye buvuddeko minisita w’ebyenjigiriza yategeeza nga minisitule bwetekateeka okugema abayizi abali wagulu w’emyaka 18 olwo nga n’amasero gagulwewo mu mitendera nga bakutandiika n’ebibiina ebimu.

Mpuuga agamba nti amasomero gasobola bulungi okuteekateeka n’okwawula ababeera basangiddwamu obulwadde okusinga okuleeka abaana ewaka ate ne bataayaaya eyo ne bafunirayo obulwadde.

Omubaka omukya owa  Kassanda Flavia Nabagabe Kalule ku kkono n'omubaka omukyala ow'e Kiboga Christine Kaaya Nakimwero ku ddyo

Omubaka omukya owa Kassanda Flavia Nabagabe Kalule ku kkono n'omubaka omukyala ow'e Kiboga Christine Kaaya Nakimwero ku ddyo

Mpuuga era asambazze ebigambibwa nti waliwo obunafu mu bukiiko 4 obukulirirwa ob’oludda oluvuganya naddala obwo obulondoola ensimbi z’omuwi w’omussolo n’ensaasaanya y’ensimbi mu bitongole bya gavumenti okuli PAC ne COSASE nti tebulina mirimu mu kadde kano olw’okubanga bukyalemereddwa okukomyawo liipooti okuva mu ofiisi ssaabalirizi w’ebitabo bya gavumenti ezaalekebwa nga tezimaliriziddwa palamenti ey’e 10.

Agambye nti bakyagenda mu maaso n’okwebuuza ku butya bwe bagenda okuzifuna kuba amateeka gabakkiriza okukwata ku mirimu egyakolebwa olwo gitambule wabula nga batambuza mirimu gyakulondoola ensimbi za COVID. Ono bamuyozaayozezza okumala ennaku 100 ng’ali ku kifo kino.

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});