Ab'e Bunnamwaya bayiiseemu ez'emyooga
Jun 10, 2021
Ab'e Bunamwaya bagudde mu bintu bwe baweeredwa satifiketi ezibakkirizisa okuggyayo ssente z'emyooga mu bbanka akawunti zaabwe.
Ab'e Bunnamwaya bayiiseemu ez'emyooga
BYA ERNEST KYAZZE
Olwaleero RDC w'e Kasangati Jjemba Moses ng'ono y'atwala Kasangati, Nansana saako ne Makindye Ssabagabo akwasizza ab'e Bunamwaya ekisangibwa mu division y'e Ssabagabo ebbaluwa zaabwe ezibawa olukusa okukozesa sente zino nga bazijja mu bank gyezatebwa.
Baba1
RDC Jjemba Moses wano w'asinzidde n'ayozayoza ab'eno olw'ekkula lye batuuseeko kubanga tekibadde kyangu era n'asaba abaweeredwa ssente zino okusaasaanya amawulire nti ssente weziri n'abalala basobole okuzifuna beddaabulule mu mbeera zaabwe.
Kyoka Jjemba atadde akaka n'alabula abaweeredwa ssente obutazirya wabulaokuzzizza mu bibakulaakulanya era n'awera nti gwe kanaatanda n'asangabwa ng'azizzizza mu bibye waakumusiba.
Baba2
Oluvannyuma RDC Jjemba akwasizza abatuukirizza ebisaanyizo satifiketi zaabwe kyoka n'akuutira abantu bonna ababaddewo wano okwekuuma ekirwadde kya Covid-19 ekisaasaanye ennyo mu ggwanga lyattu Uganda.
No Comment