Abagambibwa okutigomya aba'e Kasangati Poliisi y'ebataasizza ku batuuze

Jun 03, 2021

Ababadde bagufudde omugano mu bitundu by'e Kasangati nga bateega abantu ne babanyagulula mu budde bw'ekiro bawonedde watono okuttibwa abatuuze ababazingizza nga baakamala okubba omukazi.

Abagambibwa okutigomya aba'e Kasangati Poliisi y'ebataasizza ku batuuze

Ernest Kyazze
Journalist @New Vision

Bino byabaddewo mu kiro ky'Olwokusatu ku ssaawa 5:30. Bano okukwatibwa kyaddiridde okubaako omukyala gwe bataayiza ataategeerekese mannya mu bitundu by'e Kyankima okumpi n'ekifo ekisanyukirwamu ekya Bebe Club ku luguudo oludda ewa Besigye.

Nga bamaze okumunyagako essimu, omukazi yalayizza enduulu eyasombodde abantu abenjawulo okumudduukirira. Abatuuze beekozeemu omulimu ne babataayiza kyokka ne basooka babeesimattulako ne beesogga akazigo nga kano mwe babadde basinziira okutigomya abantu.

Ssa7

Ssa7


Omutuuze eyabalabye nga beefubittika akazigo ye yatemezza ku baabadde babawondera bwe batyo ne balumba akazigo n'obusungu ne babalagira ababbi okuggulawo kyokka ne beerema ekyawalirizza abatuuze okuva mu mbeera ne baasa amadirisa g'endabirwamu n'enzigi okubakukunulayo ku mpaka kyokka era ne bagaanirayo.

Abatuuze baalabye eky'okukoona enzigi tekiibayambe kwe kuyita ssentebe w'ekitundu, Edward Musoke Mulyanga eyatuuse obukubirire n'abalagira baggulewo kyokka naye ne bamujeemera.

Ssa3

Ssa3

Mulyanga yakangudde ku ddoboozi nga yeegattiddwaako abatuuze abaabadde bakaaye okukira enjuki enkubemu ejjinja ng'eno abatuuze bwe bamugamba abakkirize bamenye ennyumba beekolere ku bavubuka bano, ekintu kye yagaanye bw'atyo n'akubira Poliisi y'e Kasangati eyazze obukubirire okukkakkanya embeera .

Poliisi ng'eduumirwa akulira ebikwekweto mu Kasangati, Abraham Mwesigwa yatuukidde mu budde  okukkakkanya embeera. Mwesigwa yasabye ababbi okuggulawo mu mirembe kyokka era ne beerema ekintu ekyamuggye mu mbeera n'afuna ennyondo okuva mu batuuze ne bamenya oluggi ng'eno abatuuze bwe basaakaanya n'okulangira agavubuka gano ga mbulakalevu obutaagala kukola n'okwagala eby'amangu.

Ssa6

Ssa6

Poliisi oluvannyuma lw'okumenya oluggi yeesozze akazigo kyokka agavubuka ne gaagala okulwana nga gababuuza ekibamenyesezza oluggi lwabwe n'okutataaganya mu mirembe gyabwe ng'abamu baalabise nga abavudde mu tulo otungi kyokka kino tekyalemesezza Poliisi kubakwata n'eyaza ennyumba ne babasanga ne kaadi y'emmotoka saako layini z'amasimu ag'emikutu egyenjawulo n'ebintu ebikozesebwa mu kumenya amayumba omwabadde ennyondo n'ebirala ebikozesebwa mu kunyaga.

Ssa1

Ssa1

Oluvannyuma Poliisi yabafulumizza omu ku omu nga bw'ebalinnyisa kabangali kyokka yasanze obuzibu olw'abatuuze abaabadde baswakidde bugo era bakira buli bafulumya abaatuuze basooka kumuwuttula migere ekyawalirizza Poliisi okwanguwa okubaggyawo okwewala ebirala ebiyinza okuddirira.

Ssa4

Ssa4

Mulyanga yategeezezza nga abakwate bwe babadde bagufudde omugano okuteega abantu be ekiro nga bwe banyagulula kyokka ku luno abatuuze be beekozeemu omulimu ne babataayiza ne bakwatibwa.

Ate George Male Mutebi ayokya wolodingi e Kasangati nga y'omu ku baataayizza ababbi bano ategeezezza nga olutalo bwe lutaabadde lwangu kuba ababbi baasoose kuteekawo mbeera ya kukuba bantu kyokka ne babalemerako mokutuusa lwe baabazinduukirizza mu kazigo mwe baabadde beekukumye.

Ssa5

Ssa5

Wabula ku bakwate bano waliwo omugoba wa bodaboda eyategeerekeseeko erya Ssentumba eyabalumirizza okumukuba ennyondo nga baagala okubba pikipiki ye era emagombe yasimbayo kitooke.

Bbo abatuuze ababadde batasalikako musale bavumiridde ekikolwa ky'abavubuka obutaagala kukola ne basalawo kutigomya kyalo ne basaba Poliisi okukangavula abakwate gasimbibwe mu mbuga z'amateeka babonerezebwe.

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});