E Luweero basonze ezokuzimba ekizimbe kyabaweereza abawummudde
May 29, 2021
ABAKRISITU mu ssaza lya Kasana Luweero amazuukira baagakuzizza mu nnaku n’ekiyongobero olw’okufa kw’omutandisi w’essaza lino Dr. Cyprian Kizito Lwanga.
E Luweero basonze ezokuzimba ekizimbe kyabaweereza abawummudde
Dr. Lwanga yafuulibwa omwepisikopi w’essaza lino mu 1996 ate mu 2026 n’afuulibwa Ssabasumba n’asikirwa omusumba Paul Semwogerere.
Bp. Semwogerere yasinzidde mu kusaba kwa paasika ku lutiko e Kasana n’atendereza emirimu omugenzi gye yakolera essaza n’amaanyige gonna n’aleka omukululo omunene mu buli nsonda ya ssaza era babadde bamwesunga kubeegattako mu kujaguza emyaka 25 bukya ssaza lino litandikibwawo nga naye abadde olunaku alwesunga.
Omusumba yasabye abantu okweyambisa amazuukira okulaajanira Katonda ajjewo endwadde omuli Covid 19 atadde ensi ku bunkenke n’asannyalaza emirimu , okuvaako obutabanguko mu maka, abaana okufuna embuto n’abalala okwenyigira mu buseegu n’okusabira abasawo bafune eddagala eritaleete bulabe ku bulamu bwaffe n’abantu okugondera amateeka obulwafdde buleme kusasaana.
Yennyamidde olw’obutabanguko obuzzenga bubaawo bukya kulonda kuggwa omuli okutulugunya abantu, okubasiba mu makomera ne batawoza, n’okuttibwa n’asaba amazuukira geeyambisibwe okukola ebikolwa eby’ekisa eri bannaffe abantu bave ku by’okunsi bakole Katonda byayagala.
Ate ku lutikko y’omutukuvu Makko e Luweero okusaba kwakulembeddwa omulabirizi Eridard Kironde Nsubuga naye yasabye abakulisitaayo okwetangira covid 19 n’okusaba Katonda asibe emyoyo emibi egivaako abantu okubonaabona.
Nsubuga yagugumbudde bannabyabufuzi abalimba, abannanfuusi ne bavaako abantu obutabeesiga okweddako.
No Comment