Gavumenti egenda kwongera okusindika ssente za Covid

Jul 14, 2021

GAVUMENTI eyongezzaayo nsalessale w’okukoma okusindikirako ssente za Covid  oluvannyuma lw’okwesanga ng’abamu babadde boolekedde okulekebwa ebbali olw'amannya agamu agatakwatagana na biwandiiko.  

Minisita Nabbanja

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

Bya Kizito Musoke, Wilson Ssemmanda, Madinah Nalwanga  

GAVUMENTI eyongezzaayo nsalessale w’okukoma okusindikirako ssente za Covid  oluvannyuma lw’okwesanga ng’abamu babadde boolekedde okulekebwa ebbali olw'amannya agamu agatakwatagana na biwandiiko.  

Ssente zaabadde zaakukoma okuweerezebwa  leero okusinziira ku Aggrey Kibenge omuwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule y’ekikula ky’abantu.  

Betty Amongi minisita w’ekikula ky’abantu yasinzidde ku Media Centre eggulo n’ategeeza nti ku bantu 501,107 baakafuna ebikwata ku bantu abantu 377,021 abalina okufuna  emitwalo 10 nga bakola ebitundu 75 ku 100.  

Kyokka abaakafuna ssente ku ssimu bali 143,642 nga bye bitundu 38 ku 100. Bano basasuddwa ssente eziwera 14,712,531,850. 

Waliwo amannya g’abantu 150,915 agazziddwayo ewa ba Town Clerk gongerwe okwekenenyezebwa kuba gaazuuliddwako ebitakwatagana okuli; amannya agali ku densite n’agawandiisibwa ku nnamba z’amasimu nga tegakwatagana.  

Abalala ennamba z’amasimu tezaawandiisibwa kkampuni za masimu. Ezaawandiisibwa ezimu teziri ku 'mobile money' ate waliwo abamu  abatateekako nnamba za ssimu. Waliwo amannya g’abantu agaaweerezebwa kyokka ne gatawerekerwako bbaluwa okuva ewa Town Clerk  nga bwe kirina okuba.  Ab'e Fort Portal, Iganga ne Koboko balagiddwa okuweereza ebbaluwa ezigendera ku mannya ge baaweereza.  

Ba Town Clerk balagiddwa beekenenye ebitakwatagana  n’oluvannyuma bazzeeyo amannya ku minisitule. Abanaabeera n’essimu entuufu bagenda kusindikirwa ssente ate abalala bajja kufuna ssente mu bitundu gye babeera nga zibatwalirwa aba Post Bank. Okufuna ssente olina okubeera ne densite y’eggwanga oba NIN nnamba.  

Amongi yagambye bagenda kugenda mu maaso nga bagaba ssente, ng’olunaku lwe banaakoma okusasula lujja kulangirirwa Katikkiro w’eggwanga Robina Nabbanja. 

Mu Kampala, aba Central baamalirizza okuweereza amnnya g’abanaafuna ssente gonna agawera 6440, e Nakawa baakaweereza amannya agawera   12876, ku bantu 27892 abaabasalirwa nga bye bitundu 46 ku 100. 

E Makindye baakaweereza amannya 14282 ku bantu 40317 nga bye bitundu 75 ku 100. E Kawempe baakawandiisa abantu 12691 ku bantu 43625 abaabalagirwa nga bye bitundu 29 ku 100. 

E Lubaga baakawandiika 21461 ku bantu 39200 be baalagirwa nga bye bitundu 54 ku 100.  

Minisipaali ye Mityana ye y’akasinga okuwandiisa abantu abatono nga bali 1,358 ku bantu 9,136 abaabalagirwa okuwandiika nga bye bitundu 14 ku 100.  

TAATA  NE MUWALA WE BAFUNYE  LUMU 

Muhamud Kawuma 45, omusomesa ku Bweyogerere High  nga mutuuze we Ntebettebe mu munisipaali ye Kira yagambye nti ssente yazifuna mu kiro ekyakeesa Mmande ku ssaawa 2:00 ez’ekiro.  

Ekyewuunyisa mu kiseera kye kimu ne muwala we Zahara Hadijah Nassimbwa naye we yafunidde ssente mu kiseera kye kimu.  

Kawuma okufuna ssente yakiyise kyamagero kuba awaka alabirira abantu 12 nga bonna tekuli akola batudde waka.  

“Ssente zaffe twazigasse ne muwala wange ne tugula ebintu ebyawamu era aboogera nti ebya ssente tebiriiwo wendi nnyo okwewaako obujulizi” Kawuma bwe yagambye. Baaguze omuceere kkiro 25, ebijanjaalo kkiro 10, akawunga kkiro 10, n’ensawo y’amanda.  

Nassimbwa abadde yaakamala okusoma obusomesa ku yunivasite e Kyambogo era yeebazizza  Gavumenti olw’okubalowoozaako kuba mu kugaba emmere baafikka.  

Ye Nnaalongo Ruth Namusoke naye owe Ntebettebe e Bweyogerere ajaganya ng’akimezezza  okwenkula kuba abadde talina kyaliisa balongo be.  

Bwe yafunye ssente yaguzeeko omuceere n’akawunga bya 80,000/- ate 20,000/- ze yaguzeemu ebijanjaalo.  

POST BANK BALINZE KUSUNSULAMU MANNYA 

Doreen Nyiramugisha, omwogezi wa Post Bank abaaweebwa obuvunanyizibwa bw’okusindika ssente yagambye nti tebannaba kuweebwa lukalala lw’amannya g’abantu abatalina ssimu be beetaaga okutwalira ssente.  

Yagambye nti aba minisitule bakyekebejja amannya gonna era bwe banaamala bajja kubawa abatalina ssimu olwo basindike emmotoka zaabwe bazibatuseeko mu bitundu.  Ekyetaagisa ye muntu okubeera ne densite y’eggwanga oba NIN nnamba.  

Nyiramugisha yagambye nti balina obumotoka bwa vvaani 14 obugenda okutalaaga ebibuga byonna era nga bazze babweyambisa emirundi egy'enjawulo okutwala ssente nga bwe kikolebwa ku z’abakadde.  

 

 

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});