Uganda yeddizza ekya Afrika mu ddigi

Feb 25, 2020

Kati emirundi giri musanvu nga Uganda esitukira mu ngule ya Afrika. Ku Ssande yazeddizza omulundi ogwokubiri ogwomuddiring'anwa.

Obubonero bwe baakung'anyizza ku Ssande

Kenya 696

Uganda 596

WADDE baakutte kyakubiri mu mpaka ezaabadde e kenya, ttiimu ya Uganda eya ddigi yeddizza ekikopo ky'amawanga agava mu bubanjuba n'amasekkati ga Afrika (FIM Central Africa Motorcross Championship). Bano baameze Kenya ku mugatte gwa bubonero 2075.

Ku Ssande baabadde mu kibuga Nairobi e Kenya ng'eno baafuniddeyo obubonero 596. Kenya eyawangudde mu mpaka z'oku Ssande yafunye obubonero 696. Uganda yatwala ekibinja ky'abavuzi 22 nga bano be bagiyambye okweddizza ekikopo kino.

Kapiteeni wa ttiimu eno, Maxime Van Pee yeebazizza abavuzi olw'omutindo omulungi n'empisa ze baayolesezza nga battunka ne Bannakenya ku ngule eno.

"Ndi musanyufu nti nsobodde okukulembera ttiimu nga yeedizza ekikopo kino. Twatwala abavuzi batono wabula baasobodde okulwanirira ekitiibwa ky'eggwanga," Van Pee bwe yagambye.

Guno gwabadde mulundi gwa musanvu nga Uganda esitukira mu ngule eno.

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});