EYALI Katikkiro wa Buganda era omuwi w’amagezi eri Kabaka, danmuliika akulembedde ekibinja kya banna-byabufuzi abawakanya ebbago ly’etteeka ly’ettaka okugenda mu Amerika okulivumirira mu misomo egy’enjawulo.
muliika asuubirwa okusitula ku Lwokubiri ne minisita wa Kabaka, David Mpanga, ababaka Hussein Kyanjo (Makindye West), Joseph Balikuddembe (Busiro South), Erias Lukwago (Kampala Central) n’omwogezi wa DP, Betty Nambooze.
Baayitiddwa n’okusasulirwa kalonda yenna ekibiina ekigatta Bannayuganda ababeera mu kibuga Los Angels ekya California mu Amerika ekiyitibwa Uganda Community Organisation in California (UCOC).
Ebbaluwa eziyita muliika ne banne Bukedde ze yafunyeko kkopi, ziriko omukono gwa Dennis Paul Kavuma ng’ono ye Pulezidenti wa UCOC. Bagenda kwogera ku nsonga ttano omuli;
* Okusika omugwa wakati wa
Kabaka ne Gavumenti
y’awakati; kiki ekiddirira?
* Ebyafaayo ku bwannannyini
bw’ettaka mu Buganda n’e
Uganda okutwalira awamu.
* Amateeka agazze gakolebwa
okufuga eby’ettaka okuva
mu myaka gya 1800 okutuu-
ka leero.
* Obwannannyini bw’ettaka
mu Bwakabaka bwa Buganda
ne Uganda nga batunuulira
ebiseera ebyayita n’ebiriwo.
* Okuwa amagezi ku kiddirira.
“Omusomo gutandika February 14 okutuuka nga February 17.
Ebbaluwa endala eriko omukono gwa Kiwanuka L. Nsereko yagambye nti, ‘ffe Bannayuganda abali mu Amerika tulina ettaka mu Uganda.
Obugulumbo obuli wakati wa gavumenti n’ebi-tundu eby’enjawulo butweraliikirizza y’ensonga ebayisizza tukubaganye ebirowoozo’.